OBUBAKA OKUVA ERI ABABAKA BA SSABASAJJA KABAKA RONALD MUWENDA MUTEBI II ABATUULA MU MASAZA GE AGALI MU UNITED STATES OF AMERICA NE CANADA.
Eri Mw. David ne Muky. Gertrude Lwanga,
Ababaka ba Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II, abatuula mu United States of America ne Canada, munnaku enyingi, tutuusa okusaasira kwaffe eri omwami David n’omukyalaGertrude Lwanga abatuula e Atlanta, Georgia, olw’okufirwa muwala wamwe Damalie Lwanga. Tusaasira baganda b’omugenzi, aboluganda awamu n’abemikwano okufirwa omwagalwawabwe. Tuli namwe mu kunyolwa, olwo kufa kwa Damalie.
Abazadde ba Damalie bannange mufiriddwa nnyo omwana, ekirabo kya mwe okuva eriOmutonzi. Nate, nga abadde kirabo eri Obuganda, naddala nga mpagi luwaga eri Abagandaabatuula mu United States of America ne Canada, n’okusingira ddala, abo ababeera mu Atlanta, Georgia. Tufiriddwa nnyo nnyini ddala!
Ekiseera kibadde kitono ddala Damalie kyamaze kunsi, naye nga byakoze, byo bye bingi. Aleseeddibu ddene, kubanga abadde kyakulabirako mu ngeri gyabadde akwataganyaobuvunanyizibwa awamu ne mirimu gye. Tubadde nga tusiima nnyo ebiseera byabadde awaayookuwanirira ebibiina naddala ebya Baganda awamu n’omuntu owa bulijjo, nga akozesaobumanyirivu bwe, amagezi ge awamu n’amanyi ge.
Twebaza Omutonzi ekiseera Damalie ky’amaze naffe ku nsi kuno. Era twongera okusabiraOmwami David n’omukyala Gertrude Lwanga, awamu n’abenganda, Omutonzi ayongereokubagumya. Tusaba Mukama omugenzi amuwe ekiwummulo eky’emirembe.
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II
KABAKA’S REPRESENTATIVES
Wycliffe Lule-Musoke, Omubaka ne Ssebagala Kimuli, Omumyuka – South East Coast mu New Jersey, New York, Pennsylvania and Delaware; Muweereza@yahoo.com
Kato Kajubi Bijumbuko, Omubaka ne Henry Ndawula, Omumyuka – New England Region, USA mu Massachusetts, Rhode Island, Maine, New Hampshire, Connecticut and Vermont – kbkajubi@gmail.com
Abu L. Senkayi, Ph.D., Omubaka ne Frank Sentamu, Omumyuka – South West mu Texas, Louisiana, New Mexico, Arkansas and Oklahoma - senkayi@yahoo.com
Margaret Muwonge, Omubaka ne Raymond Kabenge, Omumyuka – Mid Atlantic mu Washington DC, Maryland, Virginia ne West Virginia - mirikakika@gmail.com
Samuel Mwanje Kiggwe, Omubaka ne Gerlad Katongole, Omumyuka – South East mu Georgia, the Carolinas, Florida, Kentucky, Mississippi, Tennessee ne Alabama - kiggwesam@yahoo.com
Luzzi Dick Kakande, Omubaka ne Denis Kidde, Omumyuka – Mid West mu Illinois, Wisconsin, Michigan, Indiana and Missouri - luzzikakande@yahoo.com
Esther Nassuna Kiragga Lyles, Omubaka ne DC. Kiyemba, Omumyuka - Colorado, North ne South Dakota, Utah ne Monasuna13@hotmail.co
Estella Namakula Muyinda, Omubaka ne Erisa Kawooya Mugabi, Omumyuka e Canada - estella.muyinda@gmail.com
Joseph Ndugwa Ssemakula, Omubaka West Coast mu Los Angeles, South California, Arizona ne Hawaii - josendugwa@yahoo.com
Moses Mayanja, Omubaka ne Grace Kiboneka, Omumyuka - Washington St, Idaho ne Oregon -mmayanja1971@gmail.com
Patrick Nalikka Sendegeya, Omubaka - Northern California ne Nevada - paatins@gmail.com
No comments:
Post a Comment